Amawulire

Amaka g’obwapulezidenti galabudde

Amaka g’obwapulezidenti galabudde

Ivan Ssenabulya

August 4th, 2019

No comments

Benjamin Jumbe, Amaka g’obwa pulezidenti galabudde bannauganda okubeera abegendereza enyo eri bannakigwanyizi ab’enonyeza ebyabwe abagenda bafera abantu nga babajako ensimbi nga babasuubiziza okubatuusa eri omukulembeze w’eggwanga.

Okulabula kuno wekugidde nga poliisi kyegye ekwate omusajja ategerekese nga Daniel Taremwa, omutuuze w’e makindye ku luguudo lw’e Salama olw’okukozesa olukujukuju nagyako musiga nsimbi obuwanana bw’ensimbi i nga amulimbye okumutuusa eri pulezidenti

Kati Linda Nabusaayi akola ku by’amawulire mu office ya pulezidenti agamba nti waliwo amakubo amatuufu agalambikidwa omuntu yenna galina okuyitamu okulaba Museveni nga abantu tekyetagisa kubafera

Ono akuutidde abagala okulaba Museveni bulijjo okwebereramu nga enjogera yennaku zino bweri nga basaba abo abagala okubatuusa eri pres ebiwandiiko ebibakwatako okwewala okuferebwa.