Amawulire

Amaka gábantu agasoba mu 200 gakosebwa nnamutikwa wénkuba afudembye

Amaka gábantu agasoba mu 200 gakosebwa nnamutikwa wénkuba afudembye

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Amaka gábantu agasoba mu 200 gakosebwa nnamutikwa wénkuba afudembye nga alimu ne kibuyaga mu disitulikiti yé Kisoro, Kibaale , Kagadi ne Kakumiro.

Amaka ga bantu 17 go gasaaniddewo ddala munkuba ekedde okufudemba enkya ya leero e Kibaale ne birime byononedwa ku kyalo Musezero mu disitulikiti yé Kisoro

Omwogezi wa Uganda redcross society, Irene Nakasiita agambye nti disitulikiti okuli Kisoro, Kagadi, Kibaale ne Kakumiro ziri mu bulabe bwa maanyi kuba enkuba ekyatonya.

Byo ebitundu ebirime gye byenonese biri mu bulabe obwenjala kakutiya singa tebiyambibwa nga bukyali