Amawulire

Amaka agasinga gakyalemereddwa okweyunga ku Masanyalaze

Amaka agasinga gakyalemereddwa okweyunga ku Masanyalaze

Ivan Ssenabulya

December 2nd, 2022

No comments

Bya Ndaye Moses,

Amaka agasukka mu bukadde buna mwemitwalo 70 mu Uganda tegasobola kukozesa mpeereza ya masannyalaze ga mulembe mu kufumba era nga kino kikola ebitundu 66 ku buli 100 ku bantu bonna.

Akulira ebibalo by’abantu n’embeera z’abantu mu kitongole kya Uganda National Bureau of Statistics Ssenono Vincent, agamba nti kino kyeyolekera mu maka.

Ssenono agamba nti okusobola okukendeeza obwavu bw’amasannyalaze obukosa abantu abasoba mu bukadde buna gavumenti erina okutumbula enkola ezisanyusa abafumbo bombi mu maka babeere n’emirimu.

Bino yabyogedde afulumya alipoota ku muwendo gw’obwavu bw’amasannyalaze mu ggwanga.

Agamba nti ebizuuliddwa biraga nti abantu abasinga okukosebwa be baana n’Abakyala.

Agamba nti mu nteekateeka y’okussa amasannyalaze mu byalo egenda mu maaso amaka mangi gabadde gateekeddwako ebikondo by’amasannyalaze okumpi n’amaka gaabwe, kyokka ekibanyiiza, tebalina busobozi kuyunga masannyalaze gano mu mayumba gaabwe.