Amawulire

Amagye ne poliisi biyiriddwa e Mpigi

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo

Amagye ne police ekkakkanya obujagalalo bayiriddwa ku ttendekero ly’ebyemikono erya Katonga Technical Institute mu district y’e Mpigi okukkakkanya embeera oluvanyuma lw’abazadde okwegatta n’abayizi n’olukiiko olufuzi nebalumba akulira ettendekero lino Sulaiman Sseggane nga baagala abaviire ku ssomero.

Akulira olukiiko olufuzi era omukubiriza w’olukiiko lwa district y’e Mpigi, Rogers Ssejjemba agambye basazeewo okulumba omukulu ono bamwegobere kubanga ministry eganye okumubaggyako wakati mu kwekubira enduulu enfunda eziwera.

Bano bagamba nti nomubaka omukyala ow’e Mpigi Sarah Nakawunde ensonga yajiroopera minister w’ebyenjigiriza omwaka oguwedde nayenga tewali kyali kikoleddwa.

Ezimu ku nsonga ezirangibwa omukulu kuliko okutunda ebyuma n’ebikozesebwa byabayizi, abasomesa obutasasulwa kati emyezi 4, abayizi bagamba nti basula babiri babiri nebiralala.

Omukulu w’ettendekero adduse mu kiseera kino era police n’amagye kati byebikuuma ettendekero.

Okusinziira ku aduumira police e Nabyewanga, Joshua Rugwiza, abeebyokwerinda baakusigala ku ttendekero okutuusa ngabakulira ebyenjigiriza e Mpigi bagonjodde obutakkanya.