Amawulire

Amagye galabude abaazirwanako.

Ali Mivule

August 10th, 2014

No comments

PADDY

 

Amagye ge gwanga aga UPDF gawakanyizza ebibade byogerwa nti abaazirwanako abaatwalibwa mu gwanga lya Somali okukuuma emirembe ,tebaawebwa nsako yaabwe

Mukiwandiiko kyetulabyeko, ayogerera amagye ge gwanga Lt. Col Paddy Ankunda, akaladde n’ategeeza nga abo bonna aboogera ebitakwataga bwebagenda okukwatibwa babitebye.

Ono anyonyodde nti abamu kwabo abeekubira  enduulu, bagibwa kumirimo gyabwe olw’okulemwa okugeberera ebiragiro, era nga wano anakodoye olukalala lw’abantu 38 abatateekedwa kubaako kyebabanja amagye .

Ankunda agambye nti  bano abeefudde nnatabula ,baali mu Somalia wakati wa 2012 – and 2013 , kyoka   nga okusinziira kumateeka g’ekinamagye , omuntu yenna agenda kukikwekweto nga kino, natawezza naku 21, aba akotokedde busa.