Amawulire

Amaggye gatangaziza kukuwambibwa kwábantu mu ggwanga

Amaggye gatangaziza kukuwambibwa kwábantu mu ggwanga

Ivan Ssenabulya

October 4th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omwogezi w’eggye lya Uganda erya people’s defence forces, (UPDF), Brig Gen. Felix Kulaigye, atangaazizza ku kuwambibwa kw’abantu okususse mu Uganda, n’ategeeza nti waliwo abantu ababi abakozesa ebyambalo by’ebyokwerinda okukola obumenyi bw’amateeka.

Kino kiddiridde abékibiina kye byobufuzi ekiri ku ludda oluvuganya ki National Unity Platform olunaku lw’eggulo okulaga ekibinja ky’abantu nga baagala ab’enganda zaabwe abaabuze bayimbulwe nga balumiriza nti abantu abasoba mu 100 bebawambiddwa.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi zábannamawulire mu kibiina kya Uganda Journalists Association, (UJA) e Kawempe akawungeezi ka leero, Kulaigye agambye nti waliwo abamenyi b’amateeka n’ekigendererwa eky’okusiiga gavumenti eri mu buyinza n’abebyokwerinda enziro nti bebawamba Bannayuganda.

Wabula ategezezza nti gavumenti tewamba wabula ekola okukwata era abakwatibwa gavumenti ebamanyi.