Amawulire

Amadduka g’eddagala 260 gaggaddwa mu Kikwekweto

Amadduka g’eddagala 260 gaggaddwa mu Kikwekweto

Ivan Ssenabulya

January 21st, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ekitongole  ekivunanyizibwa ku dagala ekya National Drug Authority kigadde ebifo awatundibwa edaggala nga tebiri mu mateeka ebiweze 260 mu kitundu ky’omumabuka g’eggwanga mu kikwekweto ekikulungudde ennaku 7 nga kiyinda mu bitundu ebyo.

Ebifo bino babisanze nga n’abamu kubabikola tebalina butendeke era nga boz z’edagala 406 nga libalirirwamu obukadde bwa shs 100 lyeliboyeddwa.

Omwogezi wa NDA Abiaz Rwamwiri, ategezezza nga kino NDA ekikola yesigama ku teeka eligendererwa okukuuma abantu nga bakozesa edaggala eritabatusaako bulabe.

Ekikwekweto kiyindidde mu district 8 districts okubadde Buyende, Iganga, Jinja, Kaliro,Kamuli, Kaynga, Namutumba and Jinja City.