Amawulire

Alupo avudeyo ku byókutaasa obutonde

Alupo avudeyo ku byókutaasa obutonde

Ivan Ssenabulya

May 21st, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Amyuka omukulembeze weggwanga Jessica Alupo alaze obwetaavu obwokukwatira awamu mu kutaasa obutonde bwensi.

Okwogera bino abadde atongoza kawefube owokusimba emiti mu bitundu bye Entebbe.

Alupo agambye nti kawefube ono agenderedwamu okulwanyisa obulabe obuli mu kusanyawo ebibira era agambye nti gavt erina ekirubirirwa okulaba nti ezaawo ebibira ne bitundu 24% wetunatukira mu mwaka gwa 2040.

Wabula kino kyetaagisa okukolera wamu.

Gavt erina kawefube owokusimba emiti egiwera obukadde 200 mu myaka 5 egijja maaso.