Amawulire

Alipoota yabakugu enenyezza KCCA olwekizimbe ekyagwa mu Kisenyi

Alipoota yabakugu enenyezza KCCA olwekizimbe ekyagwa mu Kisenyi

Ivan Ssenabulya

September 17th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole ekitegekera egwanga mu byokuzimba ekya National building Review Board bafulumizza alipoota yaabwe, oluvanyuma lwokunonyereza ku kizmbe ekyagudde mu Kisenyi.

Ekizimbe kino kyali kikyazimbibwa, wabula kyagwe nekitta abantu 6 nokulumya abalala 5.

Bwabadde afulumya alipoota yaabwe, ssabawandiisi wa booda Eng Flavia Bwire agambye nti baazudde ngebikozesebwa tebyali ku mutindo.

Agambye nti era tewaliwo magezi gakikugu okuva mu bakubi ba pulaani bayite ba architects neba engineer ku mirimu egyali gikolebwa.

Bakinenyezza ku kitongole kya KCCA bebagemba nti balemererwa okukola omulimu gwabwe okulondoola emirimu gyokuzimba nokussa mu nkola etteeka lya Building Control Act 2013.