Amawulire

Alipoota ku mivuyo egiri mu Yafeesi ya Ssaabaminisita  ewedde

Alipoota ku mivuyo egiri mu Yafeesi ya Ssaabaminisita ewedde

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kkaliisoliiso wa Gavumenti, Beti Kamya ategezeza nga okunoonyereza ku mivuyo egy’obuli bw’enguzi egiri mu ofiisi ya ssaabaminisita bwekunatera okuwundikirwa.

Mu kiseera kino waliwo okunoonyereza okugenda mu maaso ku bigambibwa nti waliwo obubi bwa mabaati gavumenti geyagula ng’eyita mu ofiisi ya ssaabaminisita agaalina okugenda mu bitundu bye Karamoja munteekateeka eyokukulakulanya ekitundu ekyo wabula negatatuukayo.

Abamu ku bagambibwa okwenyigira mu kubba amabaati gano bakwatibwa ne basindikibwa mu kkomera nga kuliko minisita owensonga ze karamoja, mary gorreti kitutu, omuyambiwe Agnes Nandutu, Minisita Amos Lugoloobi na balala.

Kamya ategeezezza bannamawulire nti tebaakoma ku kyakunonyereza ku mabaati wabula bagaziya okunonyereza kwabwe ne bazingiramu emivuyo emiralala mingi.

agambye nti waliwo okunoonyereza ku nkola y’okugula ebintu, emikutu gy’okusaasaanya ebigulibbwa, nengeri gyebiterekebwamu nga tebinatuuka ku bantu.

Kati agamba nti mu bbanga lya ssabiiti 3 bagenda kuba bafundikidde okunonyereza kwabwe alipoota bagikwase gavumenti.