Amawulire

Akwatiddwa lwa kutemula mwana

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2018

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Police e Mubende ekute omuvubuka Yitanga Diayadeng owe myaka 27 lwa kukira omwana Namawejje Namukisa owe myaka 13 namutta.

Bino bibadde ku kyalo Musale mu gombolola ye Myanzi nga omwana atiddwa abadde muyizi ku somero lya Bright Academy P/S  e Myanzi Mubende.

Omwogezi wa police atwala Wamala Region Nobert Ochom agamba nti omukwate yasangiddwa nga ava munyumba gyeyakoledde obulumbaganyi ku mwana ono nga Kati agudwako gwakutta muntu.