Amawulire

Akwatiddwa lwa kusobya kuwemyaka 13

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omusajja owemyaka 35 akawatiddwa poliisi ye Kakira e Jinja nga kigambibwa nti yasobezza ku kawala akemyaka 13 gyokka.

Omukwate mutuuze ku kyalo Wanyange mu gombolola ye Mafubira nga kigambibwa nti teyakoma okwo, naye yatikka nakawla ettu lyamugema.

Omuddumizi wa polisii mu bitundu bya Kakira David James Wamunyerere akaksizza nti akawala kano bakazudde nga kalian olubuto lwa myezi 3.

Kaggwa ensonyi kati akumibwa ku poliisi ye Kakira, ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.