Amawulire

Akulira banka enkulu ali mukabiga.

Ivan Ssenabulya

March 27th, 2018

No comments

Bya Moses Ndaye.

Ebibiina by’obwanakyeewa ebikola kuogwokulwanyisa enguzi bitabukidde  akulira banka enkulu ya uganda Proff. Tumusiime Mutebire nga ono bamulanga  kugezaako kusoomoza buyinza bwa kalisoliiso wa government

Kinajukirwa nti ebitongole bino byafunye obutakaanya oluvanyuma lwa kalisoliiso wa governmet  omukyala Iren Mulyagonja okugezaako okunonyereza ensonga lwaki ono yagobye eyali akulira ekiwayi ekitwala banka  nkozi z’amagoba omukyala Justine Bagyenda , ko n’abakozi abalala.

Twogedeko n’akulira ekibiina ekikola ogw’okulwanyisa obuli bwenguzi mu gwanga  ekya Anti-corruption coalition Cissy Kagaba  n’agamba nti obuyinza bwa kalisoliiso wa government bunene era nga butwaliramu ne Banka enkulu eye gwanga,kale nga ono agwana akirize  okunonyerezebwako mukifo ky’okwekangabiriza .