Amawulire

Akulira abasawo Dr. Oledo agaanye okuva mu kifo kye anonyerezebweko

Akulira abasawo Dr. Oledo agaanye okuva mu kifo kye anonyerezebweko

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abasawo mu ggwanga ki Uganda Medical Association Dr Samuel Oledo agaanye eky’okuddako ebbali nga bweyasabiddwa enkiiko ez’okuntikko ez’ekibiina kino okuli olukulembeze olwa National Executive Committee wamu n’olw’abakadde ab’ebuuzibwako olwa National Governing Council.

Enkiiko zino zombi zaatudde akawungeezi k’olunaku lwa ggyo nezikkanya Dr Oledo addeko ku bbali watondebwewo akakiiko kakole okunoonyereza ku bimwogerawako n’ebyo obyalabwa okukakasiza ddala oba nga by’amenya amateeka agafuna ekibiina ky’akulembera.

Mu bbaluwa etereddwako omukono omumyuka we Dr Edith Nakku ng’elambika ebikanyiziddwako mu nsisinkano, watondeddwawo akakiiko k’abantu nga 15 era nekaweebwa ennaku 5 nga kabanjulire byekanaaba kazudde.

Dr Oledo alangibwa kugenda ku mukolo gwékibina ki NRM ogw’abavubuka ogwali e Kololo ku lw’omukaaga oluwedde nafukamilira omukulembeze w’eggwanga wamu n’okumusaba addemu yesimbweo mu 2026, ate nga abikola mu linnya lya kibiina, ba memba kyebagamba nti kyakontana n’ebilayiro byeyakuba.

Dr Oledo agamba abakola bino bandiba nga balina bilala byebenoonyeza kuba obuawagizibwe eri gavumenti eri mu bukulembeze tebwatandise lunaku lwa ggulo.

Ssabawandiisi wa Uganda Medical Association Dr. Herbert Luwasata agamba nti ebyavudde mu nsisinkano gyebabaddemu byakanyiziddwako ne Dr. Oledo wabula kibeewunyisiza okwekyusa.