Amawulire

Akena Yeganye Ebyo’kutunda Ekibiina

Ivan Ssenabulya

May 24th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa

President wekibiina kya Uganda People’s Congress gwebayuuyayuuya Jimmy Akena yegaanye ebyogerwa nti aliko olukwe lwaluka okutnda ekibiina kya UPC eri NRM.

Bbannakibiina okuva mu kiwayi kye kyennyini nga bakulembeddwamu Higenyi Kemba akulira emirimu mu UPC abavuddemu omwasi nga bagamba bagala Akena alangirire nti yegasse ku NRM wabula bbo abalekere ekibiina.

Bano bagamba Mwami Akena aliko enkiiko ezekyama zatuuza ne ssentebbe wa NRM Yoweri Kaguta Museveni mungeri yokukuta.

Kati Akena bwabadde ayogerera mu lukungaana lwabannamwulire olwaleero agambye nti bino byonna ssi bituufu.

Agambye nti ekirooto kye kwekutuula mu ntebe ya kitaabwe eyaliko omukulembeze we gwanga lino Milton Obote.