Amawulire

Akena agamba Obwassenkagale bwa UPC abuliko mu butuufu

Akena agamba Obwassenkagale bwa UPC abuliko mu butuufu

Ivan Ssenabulya

October 16th, 2023

No comments

 Bya Prossy Kisakye,

Senkagale wékibiina kyébyóbufuzi ekya Uganda People’s Congress-UPC, Jimmy Akena, agamba nti akyali mukulembeze omutuufu owékibiina kino.

Ono okuvaayo bwati kidiridde Kkooti ku lwókutaano lwa ssabiiti ewedde okulangirira nti Akena obwa senkagale bwe kibiina abuliko mu bukyamu okuviira ddala mu myaka gwa 2015.

Kino kidiridde ebyasalibwawo kkooti enkulu mu mwaka gwa 2015 eyagoba Akena kubwa Senkagale bwékibiina.

Wabula mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kyékibiina mu Kampala, Akena ategezeza nti bajjulira ensala ya kkooti kunsonga eno era ne bawangula omusango mu kkooti ejjulirwamu kwekugenda mu maaso nokutegeka tabamiruka wékibiina abakiise mwe bamuweera ekisanja ekiralala kyalimu kati.