Amawulire

Akena addukiodde mu kooti ngawakanya okumugoba mu baddukanya ebyobugagga bya kitaawe

Ivan Ssenabulya

November 21st, 2017

No comments

Bya EPHRAIM KASOZI

Mutabani womugenzi Milton Obote okuva mu kibiina kya Uganda People’s Congress James Michael Aken emirerembe gye tejinaggwa, ngono akyawakanya engeri gyebamuwandukulula okuva kubwa memba abaddukanya ekibiina kya Milton Obote Foundation, ekiddukanya ebyobugagga byomugenzi kitaawe.

Mu musango gwatadde mu kooti enkulu mu Kampala, Akena awawabidde aba MOF ne ssentebbe wolukiiko oluddukanya ekitongole Nelson Ofwono ne banne abalala Terence Oyepa omuwandiisi.

Nga September 29, AKena bamugoba nebamujjako obwa memba nga bagamba nti ebimu ku byeyetabamu bimenya amateeka gekibiina.

Akena ngera ye mubaka owa munsipaali eye Lira, agamba nti byebamunenya ssi bituufu wabul;a engambo ezogerwa obwogerwa.

Omulamuzi Henrietta Wolayo ataddewo olwanga December 1 omwaka guno, okutandika okuwlira emirerembe gyabanto.