Amawulire

Akayanja ka Kabaka kanalongoosebwa

Ali Mivule

March 13th, 2015

No comments

Kabaka asiimye

Abakubi ba pulaani wano mu ggwanga nebannabwe okuva mu ssemazinga wa Africa batandise enteekateeka z’okukuba pulaani y’okukulakulanya akayanja ka Kabaka wali e Kabuusu.

Pulaani eno oluvanyuma yakuwerezebwa eri akakiiko ka Buganda akakola ku byettaka aka Buganda land board nga 11 mu mwezi gwa August mu lukungaana lw’abakubi ba pulaani olugenda okubeera wano mu Kampala.

Amyuka akulira ekibiina ky’abakubi ba pulaani mu ggwanga  Kenneth Amunsimire agamba abakubi ba pulani abenjawulo baakuvuganya mu kukuba pulaani y’akayanja kano nga era kaakufuuka ekimu ku kifo ky’obulambuzi ekikyasinze ku ssemazinga wa Africa.

Akayanja ka Kabaka kekamu ku buyanja obwasimibwa abantu obusinga obunene wabula nga abantu bagenze bakasanyawo.