Amawulire

Akatambi ka munnamawulire eyasalwaako obulago- Obama atabuse

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

America journo

Gavumenti ya Amerika ekakasizza nga akatambi akaalaze nga munnamawulire waabwe asalibwaako omutwe bwekali akatuufu.

Sotloff, 31, yawambibwa omwaka oguwedde mu Syria nga wiiki eno abakambwe ba Isis baamubaaze nga mbuzi.

Ono yalabikira mu katambi akamu omwezi oguwedde nga munne omulala  James Foley naye asalibwaako obulago.

Yyo Bungereza yayise dda olukungaana olwamangu oluvanyuma lwabatujju bao okulabula nti waliwo omungereza gwebalina nga essaawa yonna naye baakumusalako omutwe.

Omukulembeze w’eggwanga lya America Barrack Obama avumiridde ekikolwa kino ky’agamba nti ssi kyabuntu era kirina okuvumirirwa