Amawulire

Akalulu ké Serere; Omubaka Elijah Okupa akwatibbwa

Akalulu ké Serere; Omubaka Elijah Okupa akwatibbwa

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nga wasigadde essaawa ntono abantu b’essaza ly’e Serere mu Disitulikiti y’e Serere okukuba akalulu kaabwe mu kudamu okulonda omubaka wa Palamenti, owekitundu kino, omubaka wa Palamenti owe Kasilo County, Elijah Okupa akwatiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu East Kyoga, Oscar Ageca, Okupa akwatiddwa e Ochapa lwakuzimuula mateeka g’ebyokulonda oluvannyuma lw’okumusanga ng’akola kampeyini songa ennaku za kapeyini zakomekerezebwa olunaku lwajjo.

Mu kiseere kino akuumirwa ku Poliisi enkulu e Serere

Wabula mu kwogerako n’omubaka Okupa awakanyizza ebigambibwa nti yakwatiddwa ng’akola kampeyini agamba poliisi yamusanze asomesa ba polling agnets aba Emmanuel Okabe omu kubesimbyewo ku bwannamunigina.

Akalulu kano kalimu abantu bataano okuli Alice Alaso owa The Alliance for National Transformation ng’awagirwa ekibiina kya National Unity Platform ne National Economic Empowerment Dialogue, FDC ekiikirirwa Emmanuel Eratu ne Phillip Oucor owa NRM, Okabe Emmanuel owa independent nomulala omu.

Ekifo kya kino kyasigala kikali oluvannyuma lw’omubaka w’ekitundu kino Patrick Okabe ne mukyala we okufiira mu kabenje mu December w’omwaka oguwedde.