Amawulire

Akakiiko kébyókulonda kogedde ku bya Kibalama okukola yafeesi za NUP e Rubaga

Akakiiko kébyókulonda kogedde ku bya Kibalama okukola yafeesi za NUP e Rubaga

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Akakiiko ke byokulonda kakakasiza okufuna ebbaluwa eraga okuyusa mu bukulembeze bwe kibiina kye byobufuzi ekya National Unity Platform Party.

Bino byogeddwa amwogezi wa kakiiko ke byokulonda Paul Bukenya, agambye nti ebbaluwa ebaweereddwa Paul Ssimbwa Kagombe.

Bukenya agambye nti akakiiko kakuteeka ekitiibwa mu bbaluwa eno nga ssemateeka bwalagira nóluvanyuma babanukule.

Kino kidiridde ekibinja ekikulembedwamu Moses Kibalama eyali yatunda ekibiina kya NUP eri Robert Kyagulanyi ate okuvaayo olwaleero natongoza ekitebe kye kibiina kino.

Bukenya akakasiza nti satifiketi gyebalaze mu kutongoza yafeesi zekibiina kino empya ntuufu kuba zabaweebwa akakiiko ke byokulonda mu 2019 oluvanyuma lwokuwandiisa ekibiina kya NUP.