Amawulire

Akakiiko k’ebisubizo kalabudde Kasaija

Akakiiko k’ebisubizo kalabudde Kasaija

Ivan Ssenabulya

September 17th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Akakiiko ka palamenti akalondoola ebisubizo bya gavumenti kayiszza okulabula eri abakungu ba gavumenti abayitibwa mu kakiiko kano naye nebazimuula.

Kino kyadiridde akakiiko kano okuyita minisita webyensimbi Matia Kasaijja okweyanjula eri akakiiko nga 8 Sebutemba wabula natajja, awataali kuwa nsonga yonna.

Guno gwemulundi ogwokubiri ngababaka bayita ba minisita nebatajja, ngogwasooka bayita Ssabaminisita wegwanga Robinah Nabanja naye natajja.

Amyuka ssentebbe wakakiiko kano Joseph Sewungu, agambye nti Kasaija bagenda kumuyita omulundi ogwokubiri bwatalabikeko olwo bajja okutegeeza ku bebyokwerinda.

Kasaijja yetagibwa okunyonyola lwaki gavumenti negyebuli kati tenasasula abasubuzi abafiirwa ebyabwe mu gwanga lya South Sudan.