Amawulire

Akakiiko ke Ddembe Kanonyereza ku Poliisi

Ivan Ssenabulya

May 6th, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Akakiiko ke ddembe lyo’buntu mu gwanga aka Uganda Human Rights Commission kabakanye nokunonyereza ku byogerwa nti poliisi ate yeli emabega we ttemu erigenda maaso mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo, ngekolagana nabo abagenda batigomya bann-Uganda.

Ssentebbe wakiiko Hajih Medi Kaggwa ategezezza nti basitukiddemu oluvanyuma lwe ttemu eriganye okukya mu tundutundu erya Greater Masaka, Kampala, Kayunga ne district endala.

Bino webijidde nga ssabapoliis we gwanga Gen Kale Kaihura gyebuvuddeko aliko abantu 13 beyayoleka bannamawulire nti bebali emabega we ttemu lino, wabula ate abantu bano nebakawangamula nti bakola ne poliisi era yebawa obukuumi.

Kati Kaggwa agamba bino byonna byebagenda okusimbako amannyo okuzuula ekituufu.