Amawulire

Akakiiko ké byókulonda kasabiddwa okumanyisa bannauganda ku kulonda kwábakyala

Akakiiko ké byókulonda kasabiddwa okumanyisa bannauganda ku kulonda kwábakyala

Ivan Ssenabulya

May 24th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abatunulizi bébyokulonda mu ggwanga bagamba nti bannauganda obutenyigira mu kulonda kwa bakyala kiva ku butasomesebwa kimala kumanya bukulu bwa kulonda kuno.

Bino byogeddwa Charity Ahimbisibwe, eyali akulira ekibiina ekirondoola ebyokulonda mu ggwanga ekya CCEDU, bwabadde ayogerera mu lukungana olutegekeddwa ekibiina kya Netherland Institute of Multipaty Democracy mu kampala okukubaganya ebirowoozo ku kirina okukolebwa omuwendo gwa benyigira mu kulonda kwa bakyala okweyongera.

Anyonyodde nti bannauganda bangi balina endowooza nti okulonda kwa bakyala kwa kibiina kya NRM ne beesulirayo ogwannagamba.

Ahimbisibwe asabye akakiiko ke byókulonda okusomesa abantu okutandikira ku mutendera ogwawansi ku kulonda kwábakyala.

Okusinzira ku pulogulamu eyafulumizibwa akakiiko ke byokulonda entekateeka kukulonda kwa bakyala zitandika nga 10th June -12th August 2022.