Amawulire

Akakiiko ké byénjigiriza kakunonyereza ku Masomo agatakkirizibwa

Akakiiko ké byénjigiriza kakunonyereza ku Masomo agatakkirizibwa

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’emizannyo olwaleero kagenda kutandika okwekenneenya ebigambibwa nti amattendekero ga yunivasite mu Uganda aga gavumenti nag’obwannannyini gasomesa abayizi amasomo agaayitako.

Emikutu gy’amawulire wiiki eno gyafulumiza amawulira agalaga nti bannayuganda abalina diguli abatwala okusaba kwabwe munsi endala okweyongerayo némisomo eppapula zabwe ezobuyigirize zigaanibwa kuba amasomo ge baba basoma gaba tegakkirizibwa.

Ssentebe wa kakiiko ka palamenti ake byenjigiriza John Twesigye, yategezeza olunaku lweggulo nga bwebagenda okutandika okunonyereza kunsonga eno nga basisinkana abakulu minisitule eye byenjigiriza na bakwatibwako olunaku lwaleero ne nkya balabe ekituufu.