Amawulire

Akakiiko kagenda kusisinkana Presidenti Museveni

Ivan Ssenabulya

December 5th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Akakiiko ka palamenti akamteeka, akali ku mulimu gwokwekennenya ebbago lye nnongosereza mu ssemateeka, okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga kakusisinkana omukulembeze we gwanga Yoweri K Museveni emisana ga leero.

Akakiiko akakubirizibwa omubaka Jacob Oboth Oboth kakusisinkana presidennti Museveni mu maka gobwa presidenti Entebbe, ngoluvanyuma bakuvaayo ne alipoota.

Ennongosereza ezayanjulwa omubaka wa Igara West Rapheal Magyzi zagenderera okujjawo enyingo 102 (b) eya ssemateeka aeyateeka ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga 35 ejisokeerwako ne 75 egya waggulu.