Amawulire

Akakiiko ka PAC kessunze okunonyereza ku ssente za Nabbanja

Akakiiko ka PAC kessunze okunonyereza ku ssente za Nabbanja

Ivan Ssenabulya

July 23rd, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akalondoola ensasanye yensimbi, aka Public Accounts Committee bategezezza nga bwebagenda okunonyereza ku nkalala zabanatu abawereddwa obuyambi bwensimbi, emitwalo 10 okuva mu gavumenti ezomuggalo gwa ssneyiga omukambwe.

Ku lunnaku Lwokusattu Ssabaminisita we’gwanga, Robinah Nabbanja yataddeyo enkalala nebiwnadiko ebirala ebkwata ku ntekateeka nga bweyatambudde.

Kati ssentebbe wakakiiko omubaka Medard Ssegona, agambye nti essaawa yonna bagenda kufuna ebiragiro okutandika okunonyereza kwabwe.

Mu ntekateeka eno, abantu bangi bazze bemulugunya nga bagamba bawandikibwa wabula bakanya kulinda tebafuna ssente.

Wofiisi ya Ssabaminisita wegwanga, yategeeza nti abatafuna ssente, baakuzifunira mu Post Banka oluvanyuma lwokuddamu okwekenneenya ebibalo ebibakwatako.