Amawulire

Akakiiko ka NCHE kagamba ensobi za Yunivasite ku masomo agaayitako

Akakiiko ka NCHE kagamba ensobi za Yunivasite ku masomo agaayitako

Ivan Ssenabulya

May 24th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Akakiiko akavunanyizibwa ku byénjigiriza ebyawaggulu mu ggwanga aka National Council for Higher education, kavudeyo kunsonga za yunivasite ezisomesa abayizi amasomo agayitako.

Akakiiko kawedde yinivasite zonna mu ggwanga ezisomesa amasomo gano okutereeza ensobi mu bbanga lya myezi 6 gyokka.

Akakiiko era lugumizza abayizi abamaze diguli n’abazadde nti ebisaanyizo ebyebafuna mu masomo gonna agakkirizibwa emabegako bituufu.

Mu kiwandiiko kye bafulumiza, akakiiko wabula tekannyonyola ngeri kino gye kisoboka omuyizi okuba ne bisanyizo ebituufu ate nga yasoma bikyamu.

Omumyuka wa kyansala wa Mbarara University of Science and Technology (MUST), Prof Celestino Obua, n’abalala olunaku lweggulo bategezeza Ddembe FM nti baali batwala dda amasomo gonna agalina okudamu okwetegerezebwa ka NCHE, kyokka nekalwawo okubadamu.

Wabula Prof Okwakol yekaliza mu baddukanya yunivasite nti bebavunanyizibwa kunsobi zonna.