Amawulire

Akakiiko ka Nambooze kakunyizza abakungu kubya paaasipoota ez’ekikungu

Akakiiko ka Nambooze kakunyizza abakungu kubya paaasipoota ez’ekikungu

Ivan Ssenabulya

September 22nd, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Akakiiko ka palamenti akalondoola ebisubizo bya gavumenti kalagidde minisitule yensonga z’omunda mu gwanga okubalaga olukalala lwabannaYuganda bonna abalina passporta ezekikungu oba diplomatic passports.

Ababaka abatuula ku kakiiko kano bagamba nti baazudde nga wabaddewo okudibaga ekitiibwa kyazi passporta zino, nga bagamba nti zituuse nokuweebwa ba kansala.

Ssentebbe wakakiiko kano omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze, agambye nti kikyamu okutandika okudibaga passporta zino nga ziweebwa nabamu kuba famile zabakungu.

Abakulu okuva minisitule yensonga zomunda mu gwanga, nga bakulembeddwamu minisita Kahinda Otafiire babadde beyanjudde mu kakiiko kano okwanukula kun kola yemirimu gyabwe abamu gyebagamba nti erimu ebirumira.

Abababaka ku kakiiko bagambye nti bewunaganya engeri bannansi ba Nigeria, gyebeayise mu bufere nga bakozesa passporta za Uganda nebafuna emirimu mu mawanga agenjawulo.

Wabula akulira ebya passporta ku minisitule Maj Gen Apollo Kasiita Gowa yategezezza ababaka nti baliko 39 bebasobodde okukwata nebawumuza nabamu ku bakozi mu minisitule abagaba passporta zino.