Amawulire

Akakiiko akebyenjigiriza ebyawaggulu batandise okulambula abasomesa obusawo

Akakiiko akebyenjigiriza ebyawaggulu batandise okulambula abasomesa obusawo

Ivan Ssenabulya

September 24th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Akakiiko akebyenjigiriza ebya waggulu, National Council for Higher Education batandise okutalaaga egwanga nga balambula amasomero namatendekero gabasawo.

Omukulembeze wegwanga bweyatagulula ku muggalo ogwokubiri ogwekirwadde kya ssenyiga omukambwe yalagira amatendekero gano negagulawo nga 13 August, wabula ku biragiro ebyabaweebwa akakiiko ne minisitule yebyenjigiriza.

Kati bwabadde ayogerako naffe ssentebbe owa NCHE Prof Mary Okwakol agambye nti batandise nettendekero lye Busitema olwaleero, nayenga baakutuuka ku buli ttendekero.

Agambye nti bagala okumanya obangabano bateeka mu nkola ebyabalagirwa.

Bino webijidde nga namatendekero amalala nezi univasite bolekedde okuggulawo.

Omukulembeze wegwanga yalagidde baggulewo nga 1 Novemba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *