Amawulire

Akakiiko akanoonyereza ku by’etaka kataamidde minister Betty Amongi.

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Ssentebe w’akakiiko akanonyereza ku mivuyo gy’etaka nga ono ye mulamuuzi Catherine Bamugemereirwe akirambise nga bwebatalina gwebagenda kubikkirira newankubadde okuzibira kuliiso nga banonyereza ku nsonga z’ebyetaka.

Ono okwogera bino abadde agulawo olutuula akakiiko mwekasisinkanidde minister w’ebyetaka Betty Amongi eyabadde agaanye okukasisikana.

Kati mukwogera Bamugemereirwe agambye nti bbo nga akakiiko bakiriza nti buli muntu ali wansi w’amateeka, era nga bagoberera demosiya kale nga mpaawo muntu gwebatayinza kuyita.

Mukutandika munamateeka w’akakiiko kano omukulu  Ebert Byenkya, atandiise  nakusaba minister ono alambike obuyinza bwalina nga minister, nga kwogasse n’okumanya engeri gyeyatuuka okweyingiza mu nsonga z’etaka elyali elyabayindi.

Mungeri yeemu minister era atereddwa ku ninga anyonyole company AMOBET gyadukanya ne mugandawe, nga bano gyebakozesa okunyaga etaka lyabantu omuli nelyogerwako wano e kololo  ku polot 29 acacia avenue

Kyoka omulamuzi Bamugemereirwe atabukidde minister nga agamba nti ebiwandiko ebiriwo biraga nti ono yagenda mu kakiiko akadukanya etaka ly’abayindi naasabayo etaka lino , era waayita enaku 2 zokka minister naawebwa olukusa, kyoka nga naye minister ku lukiiko luno atuulako.

Kati wano minister waasinzidde n’agamba nti omukyala ono yandiba nga akozesa obuyinzaabwe nga minister okudukanya compani ye.