Amawulire

Akakiiko akanonyereza ku by’etaka kagenze Lyantonde.

Ivan Ssenabulya

July 2nd, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Akakiiko akanonyereze ku mivuyo gy’etaka akakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereirwe sabiiti eno kategzeezeza nga bwekagenda okuwayaamu n’abakulembeze bazi distrct ezitali zimu, ababaka ba paraliment, kko n’abakulembeze abalala , nga amakulu kuzuula nsibuko ya mivuya gyataka.

Kati amakya ga leero bano bagenda kukyalako e Lyantonde,okuzulira dala abanenen abali e mabaga wemivuyo gino.

Bano nga bakulembedwamu ba commissioners  okuli Fredrick Ruhindi ne Owek Robert Sebunya bagamba nti okugenda eno kidiridde abatuuze okwekubira enduulu olutakoma, olw’emivuyo kutaka egibasuza nga tebeebese.

Akakiiko kagamba nti kalina obukakafu obulaga nti okubba etaka mu kitundu kino kukulembedwamu abanene mu government, kale nga akakiikokaagala kumanya manya gaabwe.

Bano bwebanaava wano bakugenda n’ewalala nga Masaka, Lyantonde, Sembabule, Gomba, Iganga,Tororo, Butaleja, Gulu,Lira ,Masindi  ne Kiryandongo.