Amawulire

Akafuba keyongedde mu bavubuka

Akafuba keyongedde mu bavubuka

Ali Mivule

June 25th, 2015

No comments

Waliwo obweralikirivu ebiro bino mu basawo olw’ekirwadde ky’akafuba okubanga kyeyongera buli kadde naddala mu baana abali wansi w’emyaka 15 olw’obujanjabi obwegasa obutatuuka mu byalo.

Abasawo abakugu mu kitongole kya International Union Against Tuberculosis and Lung Diseases abaludde nga bakola okunonyereza ku birwadde ebisinze okutta abaana mu byalo, beebalaze obweralikirivu buno bwebabadde basisinkanyeemu  ekitongole ky’ebyobulamu awamu n’abakiise mu disitulikiti ye Wakiso e Nansana

Bano babadde basisinkanye okusala entoto ku ngeri gyebasobola okutaasa amabujje agabadde gafa olw’obutaba nabikozesebwa mu malwaliro g’omu byalo.

Abasawo bano abakulembeddwamu Dr Stella Zawedde Muyanja, nga ye Project Manager w’ekitongole kino, agambye nti amalwaliro ago mu byalo okuviira ddalla ku Health Centre ll okutuuka ku Heath Centre lV tegalina busobozi bwa kunonyereza ku bitta abaana kubanga ebikozesebwa ebisinga sibyamulembe, teri masanyalaze,nga ‘abasawo abasinga tebalina bumanyirivu na bukugu busobola kunonyereza ku kafuba.

Dr Zawedde agambye nti abaana bangi bafa akafuba olw’obujanjabi bwebafuna mu bulwaliro eyo obutamatiza ng’ate amalwaliro amanene agasinga gabeera wala, era n’asaba zi disitulikiti okusala amagezi okwongera okutuusa obujanjabi obumatiza mu malwaliro ago.

Bw’abadde aggalawo olukungaana luno, Ssentebe wa disitulikiti eno, Matia Lwanga Bwanika, naye alaze obutali bumativu olw’enzijanjaba mu byalo etematiza olw’ebikozesebwa n’obukugu wabula n’asaba minisitule y’ebyobulamu n’ebitongle eby’enjawulo okuvaayo babakwatireko okulaba nga amalwaliro mu byalo.

Agambye nti olw’obujanjabi obutono abantu batuuse n’okwejanjaba nga tebamanyi kyebakola n’obuzibu bwakyo.

Asabye abakiise mu nkiiko ez’enjawulo mu disitulikiti okukomya okulwanyisa ebintu ebigasa abantu kubanga endwadde bwezitandika okutta tezisosola oba wa kibiina ki yadde eggwanga.

File Photo : Akugaba edagala

File Photo : Akugaba edagala