Amawulire

Akabondo k’ababaka ba NRM basisinkana President leero ku nsonga z’ebbago ku bisiyaga

Akabondo k’ababaka ba NRM basisinkana President leero ku nsonga z’ebbago ku bisiyaga

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2023

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Akabondo k’ababaka b’ekibiina ekiri mu bukulembeze ki National Resistance Movement mu Parliament leero kasisinkana omukulembeze w’eggwanga mu maka g’obwa President Entebbe.

Okusinziira ku Nampala wa Gavumenti era Sentebe w’akabondo kano Hamson Obua, ababaka mu by’okwogerako nga bali ne Sentebe w’ekibiina mwemuli n’ebbago ku bisiyaga elyamusindikirwa gyebuvuddeko oluvanuyuma lwa Parliament okuliyisa.

Wabula bino webijidde nga Ssaabawolereza wa Gavumenti yamaze dda okuwandiikira President Museveni ku nsonga z’ebbago elyo wabula nga tekinategerekeka biki byabadde mu baluwa eyo ku nsonga z’ebbago ku bisiyaga.

Okuva ebbago elyo lwelyayisibwa Parliament, Gavumenti ebadde etudde ku maggwa okuva mu nsonda ez’enjawulo n’okusingira ddala abagabirizi b’obuyambi, nga bagamba eky’okufuula ebbago elyo etteeka, kujja kuba kulinyilira ddembe ly’abantu abamu.

………………