Amawulire

Akabenje ku mazzi- abakanyululwa bali 70

Ali Mivule

March 24th, 2014

No comments

 fishermen

Emirambo gy’abantu abasoba mu 70 kwabo abagudde mu Nyanja Albert gyegyakanyululya .

Bano banyuluddwa poliisi yoku mazzi nga eyambibwako abazinya mooto.

Ensasagge eno yagudewo lunaku olwomukaaga  wiiki ewedde oluvanyuma lw’eryato okwabadde abantu abasoba mu 200  nga okusinga bakongo abanonyi b’obubudamu okwebika  mu mazi wali e Ndaiga nga baabadde boolekera  district ye Ntoroko.

Joseph Mugisa yakulira ekitongole kya poliisi ekizinya moto agamba omuyigo gukyagenda maaso okusobola okunyulula emirambo emirala.

Agamba nti kati essuubi ly’okununulayo abalamu libaweddemu oluvanyuma lw’okumala akabanga nga banoonya nga mpaawo gwebalaba.