Amawulire

Akabenje kasse omu e Kiboga

Akabenje kasse omu e Kiboga

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Omuntu omu afiiridde mu kabenje akagudewo ku luguudo okuva e Kiboga okuda e Hoima mu kitundu ekimanyidwa nga Kasekende n’omulala omu natisibwako obuvune bwamaanyi,oluvanyuma lwe emotoka y’amafuta Kika Kya Fuso numba UAW 309X okutomera owa pikipiki eKika Kya Bajaj boxer numba UAX 437K

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Wamala Norbert Ochom atubuulidde nti omugenzi ye Specioza Nabawanuka ow’emyaka 34 omutuuze ku kyalo Bukasa mu Kiboga ate asimatuse ategerekese nga Hassan mulindwa omutuuze ku kyalo Nakayanga

Ohom akabenje kano akatadde ku bulagajavu.

Omulambo gutwalibwa mu ddwaliro ekiboga ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.