Amawulire

Akabejje kasse bana mu ddundiro lyébisolo mu Murchison

Akabejje kasse bana mu ddundiro lyébisolo mu Murchison

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Akabenje akagudde okuliraana ekkumiro lye bisolo erya Murchison Game Park ku luguudo oluva e Karuma okudda e Pakwach enkya ya leero kasse abantu bana.

Nachuha Damali, addumira poliisi mu bitundu bya Aswa atutegeezezza nti ddereeva wa Toyota Noah ebadde etisse abasaabaze okuva e Lira okudda e Nebbi okwetaba ku mukolo gwokwanjula emulemeredde nga batuuse ku kyalo Ayago mu Murchison game park.

Ku bafudde kuliko eyali omubaka wa palamenti akikirira aba Erotwe North, chalice Angiru abalala kuliko Debora Ogwang, Dan Ogwal ne Good luck Eric Jonathan 12.

Nachuha agamba nti waliwo na balumizibwa 2 okuli Winnie Adong 18 ne Tina Sannu 20 nga baweereddwa ekitanda mu ddwaaliro lya Anaka nga bali mu mbeera mbi.