Amawulire

Agambibwa okwagala okussaddaaka omuwala asimatuse okuttibwa

Agambibwa okwagala okussaddaaka omuwala asimatuse okuttibwa

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omusajja mu disitulikiti y’e Buikwe asimatuse okuttibwa abatuuze ku kyalo Nakalang mu Divizoni y’e Wakisi kubigambibwa nti yabadde agezaako okusaddaaka omuwala ow’emyaka 16.

Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino, Haruna Basajasubi atubuulidde nti poliisi etuuse mu budde okutaasa omutemu.

Ono agambye nti kigambibwa nti omuwala ono yamubbye ku baliraanwa n’amutwala mu basawo b’ekinnansi ne bamugaana nga bwebakizudde nti alina obuzibu ku bwongo, kwekumuzaayo ku kyalo ku n’amusuula.

Omuwala eyasimatuse okuttibwa naye atubuulidde nti ekyamutaasiza be basamize okumugaana nga balowooza nti alina obuzibu ku bwongo.