Amawulire

Agambibwa okutta mukazi we olw’obwenzi bamukutte

Agambibwa okutta mukazi we olw’obwenzi bamukutte

Ivan Ssenabulya

February 24th, 2021

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi mu distulikiti ye Sembabule eriko omusajja gwekutte, ng kigambibw nti yasse mukazi we ngamulanga obwenzi.

Omukwate ye Barugira Yampindi nga mutuuze ku kyalo Kyamabogo mu gombolola ye Kawanda e Sembabule.

Ono abadde aliira ku nsiko okumala wiiki namba, nga kigambibwa nti yadduka oluvanyuma lwokutta kabiite we Josephine Mukankobano gwabaddenga obwenzi, okuganza omusajja omulala songa babadde mu bufumbo butukuvu.

Oluvanyuma lwokutta omukazi, kigambibwa nti yakwata omulambo nagusuula mu kasaka.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Muhamad Nsubuga akaksizza okukwatibwa kwomusajja ono, nga bamuwondedde ku kyalo gyabadde yekukumye nebamukwata.