Amawulire

Agambibwa okutemula mutabaniwe avunanibwa

Agambibwa okutemula mutabaniwe avunanibwa

Ivan Ssenabulya

July 28th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omukazi owemyaka 27 asimbiddwa mu kooti ya Buganda Road navunanibwa omusango gwokutemula mutabani we owemyaka 5.

Mariam Owundo nga musubuzi, omutuuze ku Nile Couch Park mu Kampala abadde mu maaso gomulamuzi we’daala erisooka Miriam Okello Ayo nga tamuganyizza kwanukula ku musango ogumusomeddwa kubanga gwa naggomola, guwulirwa kooti enkulu yokka.

Owundo bamusindise ku alimanda mu kkomera lye Kigo okutukira ddala nga 12 August 2021 lwanakomezebwawo amanye okunonyereza weutuuse.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Peter Mugisha lutegezeza kooti ngono omusango bweyaguzza nga 13 July 2021 mu Kampala bweyakakana ku mwana we namukuba namwettira.