Amawulire

Agambibwa okubeera omubbi wa vanilla bamusse

Agambibwa okubeera omubbi wa vanilla bamusse

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Abatuuze ku kyalo Kirungu mu gombolola y’e Kyegonza mu district y’e Gomba bavudde mu mbeera nebatemaatema omusajja ateeberezebwa okubeera omubbi wa vanilla nebamutta.

Omugenzi ye ye Kizito Ntege owemyaka 33 omutuuze ku kyalo Ngomanene mu gombolola endala y’e Mpenja.

Ono asangiddwa ngabba vanilla omuto mu nnimiro yakulira akulira ebyokwerinda ku kyalo Kirungu, Sam Balaba.

Omudumizi wa poliisi mu district y’e Gomba Alfonse Musoni aweze nga bw’atagenda kuttira ku muntu yenna liiso atwalira amateeka mu ngalo.

Omulambo police eguggyewo negutwala mu ggwanika ly’eddwaliro e Gombe okwongera okugwekebejja.