Amawulire

Agambibwa okubeera omubbi bamukubye akasaale

Agambibwa okubeera omubbi bamukubye akasaale

Ivan Ssenabulya

September 10th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omusajj agambibwa okuba nti abaddenga mubbi wa lulango, bakubye akasaale bwabadde amenye ennyumba nayingira okubba.

Bino bibadde mu kabuga ke Agoro, nga Funga Ronald owemyaka 16 kati yapooca mu ddwaliro, nga Ochola Vincent ne Kacoke Martin yabukubye akasaale.

Eno kigambibwa nti abadde abbey emitwalo 29, atenga gubadde mulundi gwakubiri ngamenya nga yoomu era amenya ennyumba.

Ayogerera poliisi Jimmy Patrick Okema agambye nti, omuvubuka ono bamututte mu ddwaliro lya Agoro Heath centre III gyafunira obujanjabi.