Amawulire

Agambibwa okubba engatto za kakadde kamu agasimbanye nómulamuzi

Agambibwa okubba engatto za kakadde kamu agasimbanye nómulamuzi

Ivan Ssenabulya

March 10th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ssalongo asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ku kkooti ya Buganda road kubigambibwa nti yabba emigogo j’engato munaana.

Twesenge Hilary yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Fidelis Otwao, amusomedde omusango gw’obubbi nagwegaana.

Kigambibwa nga mutuuze we Kasubi, engato yazibba nga January 22nd 2023 okuva e Nakasero wano mu Kampala.

Engato ezigambibwa okubbibwa zaali zibalirirwamu ensimbi za Uganda abadde 1,140,000 million shillings nga zaali za Makubuya Muzafaru.

Wakudizibwa mu kkooti nga March 22nd 2023 omusango gutandike okuwulirwa.