Amawulire

Agambibwa okubba amasimu asindikiddwa e Luzira

Agambibwa okubba amasimu asindikiddwa e Luzira

Ivan Ssenabulya

December 30th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omusajja agambibwa okuba nti abadde anyakula amassimu g’abantu mu biseera bino ebyegandaalo kyadaki avunaniddwa.

Kasacca Ashiraf asibiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Asuman Muhumuza amusomedde emisango gw’obubbi nagwegaana.

Wabula amangu ddala oluvanyuma lw’okwegaana emisango omulamuzi amusindiise ku meere e Luzira ajira yebakayo okumala ennaku 14 nga n’oludda oluwaabi welumaliriza okunonyereza kwalo.

Kigambibwa omusajja ono emirimu jje abadde ajikakalabiza ku Wilson Street wano mu Kampala.

Omusajja ono yakwatibwa bweyabadde anyakudde essimu ye kika kya Samsung okuva ku Omara Samuel nga ebalirirwamu ensimbi za Uganda emitwalo 600,000 shillings.