Amawulire

Aceng avudde mu lw’okaano lw’obwa sipiika

Aceng avudde mu lw’okaano lw’obwa sipiika

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Minisita webyobulamu Jane Ruth Aceng avudde mu lwokaano, lwokuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti.

Ono yoomu ku banatu 13 ababadde balaze obwagazi munda mu kibiina kya NRM, okudda mu bigere by’omugenzi Jacob Oulanyah.

Okuvaamu kwa Aceng, kukakasiddwa ssentebbe wa NRM Dr Tanga Odoi, ngagambye nti abantu 12 bebasigadde mu lwokaano.

Bano olukiiko lwekibiina kya NRM olwa waggulu olwa CEC, bebagenda okusunsula okuwereza eri akabondo kababaka bekibiina akanatuula olwenkya.