Amawulire

Ab’omumambuka bebasinze okuganyulwa mu kusoma okwebbanja

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2022

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ekitundu kyamambuka namasekati ga Uganda, bebakulembedde mu bungi, abagenda okuwererwa gavumenti ku bbanja, mu matendekero aga waggulu mu lusoma lwa 2021/22.

Mu kwekenneenya ebibalo ebyafulumye okuva mu kitongole kya Higher Education Students Financing Board, amambuka bebakulembedde ku 52.3%.

Amasekati ga Uganda bebaddako ku 29% nekuddako obugwanjuba ku 27% atenga obuvanjuba bali 26%

Omugatte abayizi 1,530 bebagenda okuwererwa ku bbanja, okusinziira ku lukalala olwokubiri, olwafulumiziddwa.

Ssenkulu wekitongole Michael Wanyama agambye nti baatunuliridde ensonga yomwenkano gwebitundu, okuwa bonna omukisa okusoma.