Amawulire

Ab’omubyalo bagala babongere ku ddagala ly mukenenya

Ab’omubyalo bagala babongere ku ddagala ly mukenenya

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2018

No comments

Bya Gertrude Mutyaba, Sam Ssebuliba, Damalie Mukhaye ne Ndaye Moses

Nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunnaku olwabangaibwawo okwejjukanya ku kawuka ka mukenenya, abakulembeze mu district ye Yumbe basabye gavumenti okuvaayo nekola okuteeka buli mulwadde ku ddagala.

Okusinziira ku Yasin Taban, ssentebbe wa distict eno abantu bangi balwadde, naye wabadde tewanabaawo nkola okubalondoola okukaksa nti ddala bonna bali ku ddagala.

Agamba kino kifudde olutalo ku ssiriimu oluzibu kuba, abalwadde bongera okusasanya ekirwadde awatali na kubyulirirwa, nga gavumenti okuyita mu ministry yebyobulamu esaana okunogera eddagala.

Emikolo gye gwanga egyolunnaku luno, gikwatiddwa mu district ye Manafwa.

Yye omubaka omukyala owa district ye Mityana Judith Nabakoba asabye gavumenti eyongere ku ddagala, eriweweeza ku kakwuka ka mukenenya, era balikubiseemu emirundi ebiri naddala mu bitundu bye wala ebizbu okutukamu.

Okusinziira ku mubaka Nabakooba, okuviira ddala omwaka oguwedde, amalwaliro nga e Mityana gabadde ne bbula lya septrine, nga kikosezza nnyo abalwadde.

Kati asabye nti eddagala ligwana okugabibwa okusinziira ku mbeera yekitundu, abomu byalo balowozebweko nnyo.

Mungeri yeemu abasajja abawangaala nakawuka ka mukenenya basongeddwamu olunwe, nti bakoze kinene nnyo okutabaaza ssiriimu.

Okusinziira ku Moses Nsubuga amanyiddwa nga Supper charger, omu ku bewaayo okulwanyisa siriimu, okuva mu 1994, waddenga gavumenti efuba, naye abasajja bangi besuliddeyo gwa nagamba, kuba tebekebeza ate nabamu abazuula nti balwadde tebagala kumira ddagala.

Asabye abasajja bonna okugendanga mu malwaliro okumanya webayimiridde.

Ate ekitongole ekikola ku bykunonyereza ku bulwadde bwa mukenenya mu ggwanga ekya Medical Research Centre kitegezza nti waliwo essuubi mu banna-Uganda nti ekirwadde bandikirinnya ku nfeete.

Vincent Basajja avunaanyizibwa ku kukwanaganya emirimu
gy’ekitongole kino agamba nti balinako webatuuse naddala okulba nga bataasa abakyala obutasigibwa bulwadde.

Bano bagamba nti balina akaweta kebakoze nga kati bali ku mutendera gw’okulindirira ebitongole ebivunaanyizibwa ku byobulamu okukakasa, nga kakuyamba nnyo abkyala.