Amawulire

Abomu Kirangira e Mukono Bagaanye Okubasenda

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abatuuze bomu Kirangira mu ggombolola ye Nama e Mukono, batanudde okwegugunga nga bawakanya ekiragiro kya kooti okubagobaganya ku ttaka nemu mayumba gaabwe.

Abatuuze  bazibye enguudo, nebazitekamu emisanvu okubadde nokuzikumamu omuliro, nga batangira ba wanyondo ba kooti abatumiddwa okubasindikiriza.

Etaka lino liliko abantu 1000 nga liwerako yiika 365.

Balumiriza nannyini ttaka Dick Banooba obutakwata ‘Busuulu’ nekigendererwa okubagoba.

Kakati omubaka wa gavumenti e Mukono Nasser Munulo
atuseeko mu kitundu nasaba abantu okubeera abakakamu, era nalaga nokulu bwokugonjoola ensonga okuyita mu kuteesa.