Amawulire

Ab’oluganda bakyagaanye okubawa omulambo

Ab’oluganda bakyagaanye okubawa omulambo

Ivan Ssenabulya

November 10th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Ab’oluganda okuva e Kisoro, abazze okunona omulambo gw’omuntu wabwe Francis Ruhamyankaanka eyattibwa ab’ebijambiya mu gw’omunaana ku kyalo Ddongwa mu gombolola ya Kisekka mu district ye Lwengo, poliisi ebammye ebyava mu musaayi.

David Ssebuguzi nga ye ssentebe w’eKyalo Kanakulya mu Lwengo abudamizza ab’enganda b’omugenzi okuva nga 21 omwezi ogw’omwenda lwebajja okunona omuntu waabwe agamba nti naye akooye okulabirira abantu bano era embeera emuyinze.

Ssebuguzi Agamba nti yafunye essimu y’aduumira poliisi ye Lwengo Peter Twala okugenda ku wofiisi ya RDC okuweebwa ebyava mu musaayi kyokka webatuuseeyo ate nebabategeeza nti akulira abawaabi ba gavumenti e Masaka alina okusooka okuteekako omukono ekijje abantu bano mu mbeera.

Ab’oluganda lw’omugenzi okuli Kwezera Nfitumukiza ne George Mbonimpa bagamba nti bakooye okubuzaabuzibwa.

Bano bagamba baleka abantu baabwe bebalina okulabirirra, atenga balina nemirimu egyokukola.

Ssentebe wa district ye Lwengo Ibrahim Kitatta agamba nti talaba nsonga lwaki abantu bano bammibwa ebyavudde mu musaayi.