Amawulire

Abóludda oluvuganya bayimiriza akeediimo okusiima emirimu gyómugenzi Joyce Mpanga

Abóludda oluvuganya bayimiriza akeediimo okusiima emirimu gyómugenzi Joyce Mpanga

Ivan Ssenabulya

November 21st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti olwaleero bakomyewo mu ssenteserezo nga baduumirwa omukulembeze waabwe Mathias Mpuuga okusiima omugenzi Joyce Mpanga.

Omulambo gw’omugenzi Mpanga gutuuse mu palamenti enkya ya leero oluvannyuma ne guyingira mu bisenge bya palamenti ku ssaawa 8 ababaka okussa ekitiibwa mu buweereza bwe eri eggwanga.

Ekiteeso ky’okusiima omugenzi Joyce Mpanga kileeteddwa omumyuka wa ssaabaminisita owookusatu Rukia Nakadama era ne kiwagirwa akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Mathias Mpuuga n’ababaka abalala.

Mpanga ajjukirwa nnyo olw’obuweereza obw’ekitalo bwe yakola eri eggwanga nga yaliko Minisita w’ensonga z’abakyala, Minisita  ow’ebyenjigiriza ebisookerwako, omubaka wa disitulikiti y’e Mubende, omumyuka w’omukulu w’essomero lya Gayaza High School, omusomesa ku yunivasite y’e Makerere mu kitongole ky’ebyenjigiriza , Memba mu lukiiko lwa Buganda ate nga akyukirwa nyo mu kulwanirira eddembe lya bakyala.

Mungeri y’emu Mpuuga asoomoozezza baminisita ba gavumenti abaliwo kati okukopa omugenzi mu byempereeza ennungi.

Omugenzi Joyce Mpanga yazaalibwa nga Jan-22-1933 e Kassanda yafudde ku lwa mukaaga nga 18th Nov 2023